Daniel 8:13 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mpulira omutukuvu ng’ayogera, n’omutukuvu omulala n’agamba oyo eyayogera nti, “Okwolesebwa okwogera ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne ku bujeemu okuleeta okwonoona okungi, ne ku kuwaayo okwa watukuvu, ne ku batukuvu abalinnyirirwa, kulituukirira ddi era ebyo byonna birikoma ddi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne mpulira omutukuvu omu ng'ayogera, n'omutukuvu omulala n'agamba oyo eyali ayogedde, nti, “byo ebyoleseddwa ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, biribaawo kutuusa ddi? Okwonoona okungi, kulibeerawo kutuusa ddi? Okuwaayo awatukuvu era n'eggye biririnnyirirwa kutuusa ddi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne mpulira omutuukirivu omu ng'ayogera. Omutuukirivu omulala n'agamba oli eyayogera, n'amubuuza nti: “Ebyo ebirabiddwa mu kulabikirwa, biribaawo kutuusa ddi? Ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, kirimala kiseera ki nga tekinnazzibwawo? Ekibi ekyenyinyalwa kiribeerawo kutuusa ddi? Ensinza entuufu, n'Ekifo Ekitukuvu, biririnnyirirwa kutuusa ddi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndyoka mpulira omutukuvu ng'ayogera: n'omutukuvu omulala n'agamba oyo eyali ayogedde, nti Ebikwolesebwa eby'oku kiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna birituusa wa okubaawo, n'okwonoona okuzisa, okuwaayo awatukuvu era n'eggye okusambirirwa n'ebigere?