Daniel 8:15 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo nze Danyeri bwe namala okufuna okwolesebwa okwo nga nkyagezaako okutegeera amakulu gaakwo, laba ne wayimirira mu maaso gange ekifaananyi ng’eky’omusajja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, nze Danyeri, bwe nnamala okulaba ebyanjolesebwa ebyo, ne njagala ntegeere amakulu gaabyo. Mba nkyali awo, ngenda okulaba nga wayimiridde mu maaso gange ekyandabikira ng'omuntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo nze Daniyeli, bwe namala okulaba ebyandagibwa mu kulabikirwa, ne njagala mbitegeere. Nagenda okukebuka bwe nti, nga ndaba ekyandabikira ng'omuntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, nze, ye nze Danyeri, bwe nnamala okulaba ebyanjolesebwa ebyo, ne ndyoka nnoonya okubitegeera: era, laba, ne wayimirira mu maaso gange ekifaananyi ng'eky'omuntu.