Daniel 8:17 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’asembera okumpi ne we nnali nnyimiridde, ne ntya, ne neeyala wansi. Naye n’aŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana w’omuntu, ng’okwolesebwa, kwogera ku biro eby’enkomerero.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'asembera we nnali nnyimiridde: era bwe yajja, ne ntya, ne ngwa wansi nga nneevuunise, naye n'aŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana w'omuntu, ebikwoleseddwa bya kiseera kya nkomerero.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ajja okumpi ne we nali nnyimiridde. Bwe yajja, ne ntya, ne ngwa wansi nga nneevuunise. Ye n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, tegeera nga by'olabye bifa ku kiseera kya nkomerero.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n’asembera we nnali nnyimiridde: era bwe yajja, ne ntya, ne nvuunama amaaso gange: naye n'aŋŋamba nti Tegeera, ggwe omwana w'omuntu: kubanga ebyolesebwa bya kiseera kya nkomerero.