Daniel 8:23 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu biro eby’enkomerero eby’okufuga kwabwe, abajeemu nga batandise okusobya ennyo, kabaka omuzira ate omukambwe, ng’alina obukoddyo bungi alivaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enkomerero y'obwakabaka obwo obuna bw'eriba eneetera okutuuka, era nga n'abantu bayitirizza okwonoona, walisibukawo kabaka atunuza obukambwe era omukujjukujju mu byonna byakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Enkomerero y'obwakabaka obwo obuna bw'eriba eneetera okutuuka, era ng'abantu bayitirizza okukola ebibi, walisibukawo kabaka atunuza obukambwe, era omukujjukujju mu kukola eby'enkwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu kiseera eky'enkomerero eky'obwakabaka bwabwe, aboonoonyi nga batuukiridde, kabaka ow'amaaso amakambwe, era ategeera ebigambo eby'ekyama, aliyimirira.