Daniel 8:24 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aliba n’amaanyi mangi, naye si lwa buyinza bwe ye, era alireeta entiisa nnene, era aliba wa mukisa mu buli ky’akola. Alizikiriza abantu ab’amaanyi n’abantu abatukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Aliba n'obuyinza bungi, naye si lwa buyinza bwe ye, era alireeta okuzikiriza okw'entiisa, alituukiriza by'ayagala okukola, era alizikiriza ab'amaanyi, n'abantu abatukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aliba n'obuyinza, naye tebuliba bwa maanyi ng'obwa kabaka eyasooka bali abana. Alireeta okuzikiriza okw'entiisa, alituukiriza by'ayagala okukola, era alizikiriza ab'amaanyi, n'abantu Katonda be yeerondera okuba ababe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'obuyinza bwe buliba bungi, naye si lwa buyinza bwe ye: era alizikiriza kitalo, era aliraba omukisa, era alikola by'alyagala: era alizikiriza ab'amaanyi n'abantu abatukuvu.