Daniel 8:25 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aliba mulimba nnyo, n’aleetera obulimba okweyongera, era alyegulumiza nnyo. Aligwikiriza abantu bangi n’abazikiriza, era n’alumba n’Omukulu w’abalangira. Wabula naye alizikirizibwa so si n’amaanyi ag’obuntu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olw'obukujjukujju bwe, aliba mulimba okusobola okukola by'ayagala. Alyegulumiza mu mutima gwe, era alizikiriza bangi nga balowooza nti bali mirembe. Era alisituka okulwanyisa n'Omukulu w'abalangira, naye alizikirizibwa si n'amaanyi g'abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'obukujjukujju bwe, alikozesa enkwe n'atuukiriza by'ayagala okukola. Alyekulumbaza, era alizikiriza bangi, nga balowooza nti bali mirembe. Era alisituka okulwanyisa Kabaka afuga bakabaka bonna. Wabula alizikirizibwa nga tewali amukutteko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olw'amagezi ge alyeza enkwe mu mukono gwe: era alyegulumiza mu mutima gwe, era alizikiriza bangi nga balowooza nga mirembe: era aliyimirira okulwanyisa omulangira w'abalangira: naye alimenyeka awatali ngalo.