Daniel 8:26 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Okwolesebwa okukwata ku biro eby’oku makya ne ku by’akawungeezi, kwe wafuna kwa mazima, naye sirikira okwolesebwa okwo, kubanga kwogera ku biro ebigenda okujja.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwolesebwa kwewafuna ku kawungeezi n'enkya, kwa mazima. Naye ggwe ebikwoleseddwa bikuume nga bya kyama, kubanga bya nnaku eziri ewala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era okulabikirwa okwogeddwa ku kawungeezi n'enkya, kwa mazima. Naye ggwe, ebiri mu kulabikirwa okwo, bikuume nga bya kyama, kubanga waliyitawo ekiseera kiwanvu, ne biryoka bituukirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikwolesebwa eby'amakya n'amawungeera ebibuuliddwa bya mazima: naye ggwe bikka ku bikwolesebwa: kubanga bya nnaku eziri ewala.