Daniel 8:27 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze Danyeri ne mpulira nga nkooye nnyo era ne ndwala okumala ennaku. N’oluvannyuma nga nzisuuse ne nzira ku mirimu gya kabaka, kyokka okwolesebwa okwo ne kuntawanya nnyo mu mutima, ate nga sitegeera makulu gaakwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange Danyeri ne nzigwamu amaanyi, ne ndwala okumala ennaku si nnyingi, n'oluvannyuma ne nva ku ndiri, ne nzira ku mirimu gya kabaka. Kyokka ne nneewuunya ebyanjolesebwa, naye ne sibitegeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo nze Daniyeli ne nzigwamu amaanyi, ne ndwala okumala ennaku ntonotono, n'oluvannyuma ne nva ku ndiri, ne nkola emirimu gya kabaka. Kyokka neewuunya bye nalaba mu kulabikirwa, era ne sibitegeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange Danyeri ne nzirika, ne ndwala okumala ennaku si nnyingi; ne ndyoka ngolokoka, ne nkola emirimu gya kabaka: ne nneewuunya ebyanjolesebwa, naye mpaawo eyabitegeera.