Daniel 8:3 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nnyimusa amaaso gange ne ndaba, laba, endiga ennume eyalina amayembe abiri, n’amayembe ago gombi nga mawanvu naye erimu nga lisinga linnaalyo obuwanvu, ate nga lyo lyakula luvannyuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe n'ayimusa amaaso gange, ne ndaba endiga ennume, eyalina amayembe abiri amawanvu, ng'eyimiridde ku mabbali g'omugga. Naye erimu ku mayembe ago nga lisingako linnaalyo obuwanvu, ate nga lye lyamera oluvannyuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nayimusa amaaso, ne ndaba endiga ennume, ng'eyimiridde ku mabbali g'omugga. Yalina amayembe abiri, nga mawanvu, naye erimu nga lisinga ku linnaalyo obuwanvu, era eryo erisingako obuwanvu, lye lyamera oluvannyuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndyoka nnyimusa amaaso gange, ne ndaba, era, laba, endiga ensajja eyalina amayembe abiri n'eyimirira ku mabbali g'omugga: n'amayembe ago abiri gaali mawanvu: naye erimu lyasinga linnaalyo, era eryasinga lye lyaddirira okumera.