Daniel 8:4 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba endiga ennume ng’etomera edda ku luuyi olw’ebugwanjuba n’eri obukiikakkono, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo. Ne wataba nsolo nkambwe n’emu egisinza amaanyi, ate nga mpaawo ayinza kuwona maanyi gaayo. N’ekola nga bwe yayagala era ne yeefuula ya kitalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba endiga eyo ennume ng'etomera ebugwanjuba, n'obukiikakkono n'obukiikaddyo, mpaawo nsolo eyayinza okugirwanyisa, era mpaawo eyayinza okuwona amaanyi gaayo. N'ekola nga bwe yayagalanga, ne yeegulumiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ndaba endiga eyo ennume, ng'etomera ebugwanjuba, n'ebukiikakkono, n'ebukiikaddyo. Ne wataba nsolo eyinza kugirwanyisa, era ne wataba ayinza kuwonya ky'eyagala kutta. N'ekolanga nga bwe yayagalanga, ne yeeraga eryanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba endiga ensajja ng'esindika eri ebugwanjuba, n'eri obukiika obwa kkono, n'eri obukiika obwa ddyo: so mpaawo nsolo ezaayinza okuyimirira mu maaso gaayo, era mpaawo eyayinza okuwonya mu mukono gwayo: naye yakolanga nga bwe yayagalanga, ne yeegulumiza.