Daniel 8:5 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe nnali nkyalowooza ku ebyo, amangwago ne walabika embuzi ennume eyalina ejjembe eddene mu kyenyi ng’eva ebugwanjuba, n’esala okuva ku luuyi olumu olw’ensi, okulaga ku luuyi olulala nga terinnye ku ttaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe nnali nkyafumiitiriza ku ekyo, amangwago embuzi ennume, eyalina ejjembe eritutunuseeyo wakati w'amaaso gaayo, n'esala okuva ku luuyi olumu olw'ensi okulaga ku lulala nga terinyeko ku ttaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nali nga nkyafumiitiriza ku ekyo, embuzi ennume n'efubutuka ebuvanjuba, n'ejja misinde, nga n'ebigere byayo tebituuka ku ttaka, n'ebuna ensi yonna. Yalina ejjembe eritutunuseeyo wakati w'amaaso gaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe nnali nkebera, laba, embuzi ensajja n'eva ebugwanjuba n'ejja ng'eyita kungulu ku nsi yonna, n'etetuuka ku ttaka: era embuzi yalina ejjembe eryalabika ennyo wakati w'amaaso gaayo.