Daniel 8:7 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ngiraba ng’esemberera endiga eyo ennume, mu busungu obungi n’egitomera era n’emenya amayembe gaayo gombi; endiga ennume n’eggwaamu amaanyi n’eteyinza kwetaasa, embuzi ennume n’egikoona n’egwa wansi n’egirinnyirira, ne wataba n’omu eyayinza okuwonya endiga ennume eyo mu maanyi g’embuzi ennume.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ngiraba ng'esemberera endiga ennume, mu busungu obungi n'egitomera era n'emenya amayembe gaayo abiri; n'endiga ennume teyalina maanyi kwetaasa, naye embuzi n'egimegga wansi, n'egirinnyirira, ne wataba ayinza kutaasa ndiga eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ngiraba ng'erumba endiga ennume. N'egisunguwalira nnyo, n'egitomera, n'emenya amayembe gaayo gombi. Embuzi n'ekuba endiga eyo wansi, n'egirinnyirira, ne wataba ayinza kutaasa ndiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ngiraba ng'esemberedde endiga ensajja, n’egisunguwalira, n'ekuba endiga ensajja, n'emenya amayembe gaayo abiri: so n'endiga ensajja teyaliimu maanyi okuyimirira mu maaso gaayo: naye n'egimegga wansi, n'egisambirira, era mpaawo eyayinza okuwonya endiga ensajja mu mukono gwayo.