Daniel 9:12 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Otuukirizza ebigambo bye watwogerako, n’eri abakulembeze baffe, bw’otuleeseeko akabi akanene; era wansi w’eggulu tewabangawo kintu kinene bwe kityo ekyakolebwa, ng’ekyo ekituuse ku Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'onyweza ebigambo byo, bye wayogera ku ffe, era ne ku balamuzi baffe abaatulamulanga, bwe watuleetako obubi obunene: kubanga kye wakola Yerusaalemi wali tokikolangako walala wonna wansi w'eggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'otuukiriza bye wagamba okukola ku ffe, ne ku bafuzi baffe. N'obonereza Yerusaalemu, okusinga ebibuga ebirala byonna ku nsi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye yanyweza ebigambo bye, bye yayogera ku ffe, era ne ku balamuzi baffe abaatulamulanga, bwe yatuleetera obubi obunene: kubanga wansi w'eggulu lyonna tekikolebwanga nga bwe kyakolebwa ku Yerusaalemi.