Daniel 9:13 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, bwe bityo ebisobyo byonna bwe byatutuukako, naye ate nga tetunneegayirira kisa kya Mukama Katonda waffe, okulekayo ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu tusseeyo omwoyo okugoberera amazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, bwe butyo obubi obwo bwonna bwatujjako: era naye tetunnasaba kisa kya Mukama Katonda waffe, okuleka ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, olwo tubeere n'amagezi okumanya amazima go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne tuweebwa ebibonerezo byonna ebyogerwako mu mateeka ga Musa. Naye ne kaakano, ayi Mukama Katonda waffe, tetunnafaayo kukusanyusa nga tuva mu bibi byaffe, ne tussaayo omwoyo ku mazima go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, bwe butyo obubi obwo bwonna bwatujjako: era naye tetunnasaba kisa kya Mukama Katonda waffe, tuleke ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, era tubeere n'amagezi mu mazima go.