Daniel 9:15 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe eyaggya abantu bo mu nsi ey’e Misiri n’omukono gwo ogw’amaanyi ne weekolera erinnya, eryayatiikirira ne leero, twayonoona ne tukola ebitali bya butuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne kaakano, Ayi Mukama Katonda waffe, ggwe eyaggya abantu bo mu nsi y'e Misiri n'omukono ogw'amaanyi, ne weefunira ekitiibwa, ekikyaliwo ne kaakano: twayonoona, twakola bubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ayi Mukama Katonda waffe, Ggwe eyalaga obuyinza bwo, bwe waggya abantu bo mu nsi y'e Misiri, era nga ne leero obuyinza bwo bukyajjukirwa, twayonoona, twakola ebitasaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano, ai Mukama Katonda waffe, eyaggya abantu bo mu nsi y'e Misiri n'omukono agw'amaanyi, era eyeefunira ekitiibwa, nga leero: twayonoona, twakola bubi.