Daniel 9:16 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, ng’obutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo n’ekiruyi kyo obiggye ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutukuvu, kubanga olw’ebibi byaffe n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu ebya bajjajjaffe, tufuuse eky’okusekererwa eri abatwetoolodde bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ai Mukama, ng'obutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo n'obukambwe bireme kweyongera kubeera ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutukuvu: kubanga olw'okwonoona kwaffe n'olw'obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe, Yerusaalemi n'abantu bo bafuuse ekivume eri abo bonna abatwetooloola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bw'oli ow'ekisa ekingi, nkwegayiridde, oleme kwongera kusunguwalira na kukambuwalira Yerusaalemu, olusozi lwo olutukuvu, kubanga olw'okwonoona kwaffe, n'olw'ebibi bya bajjajjaffe, abantu bonna mu nsi ezitwetoolodde, banyooma Yerusaalemu wamu n'abantu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, ng'obutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo n'obukambwe bwekooloobye buve ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutukuvu: kubanga olw'okwonoona kwaffe n'olw'obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe, Yerusaalemi n'abantu bo bafuuse ekivume eri abo bonna abatwetooloola.