Daniel 9:17 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano, Ayi Katonda waffe, owulire okusaba n’okwegayirira kw’omuddu wo, olw’okusaasira kwo Ayi Mukama otunule eri ekifo kyo ekitukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano, Ayi Katonda waffe, wulira okusaba kw'omuddu wo, n'okwegayirira kwe, era, ku lwo kusaasira kwo, Ayi Mukama, tunuulira awatukuvu wo awazise.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano, ayi Katonda waffe, wulira okusaba kwange, n'okwegayirira kwange nze omuweereza wo, kwatirwa ekisa Essinzizo lyo erirekeddwa awo ettayo, olage ekitiibwa kyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakano, ai Katonda waffe, wulira okusaba kw'omuddu wo, n'okwegayirira kwe, era, ku bwa Mukama, oyazike amaaso go awatukuvu wo awazise.