Daniel 9:18 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Katonda wange, otege okutu kwo owulirize, otunuulire okuzika kw’ekibuga ekyatuumibwa erinnya lyo, kubanga tetuleeta byetaago byaffe eri ggwe olw’obutuukirivu bwaffe, wabula olw’okusaasira kwo okungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ai Katonda wange, tega okutu kwo, owulire: ozibule amaaso go, olabe ebyaffe ebyazika, n'ekibuga ekituumibwa erinnya lyo: kubanga tetuleeta kwegayirira kwaffe mu maaso go olw'obutuukirivu bwaffe, naye kubanga ggwe okusaasira kwo kungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda wange, tega okutu kwo owulire, zibula amaaso go olabe ebyaffe, ebyalekebwa awo ettayo, n'ekibuga ekyo ekiyitibwa ekikyo. Tukwegayiridde si lwa kuba nga twakola ebituufu, naye kubanga Ggwe oli wa kisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Katonda wange, tega okutu kwo, owulire: ozibule amaaso go, otunuulire ebyaffe ebyazika, n'ekibuga ekituumibwa erinnya lyo: kubanga tetuleeta kwegayirira kwaffe mu maaso go olw'obutuukirivu bwaffe, wabula olw'okusaasira kwo okungi.