Daniel 9:19 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama otuwulire! Ayi Mukama, otusonyiwe! Ayi Mukama otuwulire era obeeko ne ky’okolawo! Olw’okusaasira kwo, Ayi Katonda wange oleme okulwa, kubanga ekibuga kyo n’abantu bo n’eggwanga lyo bayitibwa Erinnya lyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, wulira: Ayi Mukama, sonyiwa: ayi Mukama, wulira okole: tolwawo: ku bubwo wekka, ayi Katonda wange, kubanga ekibuga kyo n'abantu bo batuumibwa erinnya lyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, wulira! Ayi Mukama, sonyiwa! Ayi Mukama, ssaayo omwoyo, okolerewo! Tolwa, olage ekitiibwa kyo. Ekibuga kino kikyo, era n'abantu bano babo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, wulira: ai Mukama, sonyiwa: ai Mukama, wulira okole: tolwawo: ku bubwo wekka, ai Katonda wange, kubanga ekibuga kyo n'abantu bo batuumibwa erinnya lyo.