Daniel 9:2 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mu mwaka ogwo ogw’olubereberye, nze Danyeri ne ntegeera amakulu ag’ebyawandiikibwa, ng’ekigambo kya Mukama bwe kiri kye yawa Yeremiya nnabbi, ng’okubonaabona kwa Yerusaalemi kulitwala emyaka nsanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mu mwaka ogwolubereberye ogw'okufuga kwe, nze Danyeri nali nkebera mu bitabo, ne nzuula nti Yerusaalemi kirimala emyaka nsanvu (70) nga kizise, nga ekigambo kya Mukama bwe kyajjira nnabbi Yeremiya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogwo ogusooka nga Dariyo ye kabaka, nze Daniyeli nali neetegereza ebitabo, ne ndaba ng'emyaka giriba nsanvu, ekibuga Yerusaalemu gye kirimala nga matongo, nga Mukama bwe yamanyisa Yeremiya Omulanzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu mwaka ogw'olubereberye mu mirembe gye nze Danyeri ebitabo ne bintegeeza omuwendo gw'emyaka, Yeremiya nnabbi gye yajjirwako ekigambo kya Mukama, okutuukiriza Yerusaalemi okuzika, gye myaka ensanvu.