Daniel 9:20 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe nnali nga njogera era nga nsaba, nga njatula ebibi byange n’ebibi by’abantu bange Isirayiri, nga neegayirira Mukama Katonda wange ku lw’olusozi lwe olutukuvu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe nnali nga njogera, era nga nsaba, era nga njatula ebibi byange, n'ebibi by'abantu bange Isiraeri, era nga neegayirira Mukama, Katonda wange olw'olusozi olutukuvu olwa Katonda wange:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne nnyongera okwatula ebibi byange, n'eby'abantu bange Abayisirayeli, n'okusaba era n'okwegayirira Mukama, Katonda wange, nga mmusaba azzeewo ekitiibwa ky'Olusozi lwe Olutukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe nnali njogera, era nga nsaba, era nga njatula okwonoona kwange n'okwonoona kw'abantu bange Isiraeri, era nga ndeeta okwegayirira kwange mu maaso ga Mukama Katonda wange olw'olusozi olutukuvu olwa Katonda wange: