Daniel 9:21 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
awo mu kiseera ekyo nga nkyasaba, omusajja Gabulyeri, gwe nalaba mu kwolesebwa okwasooka, n’ajja gye ndi mu mbuyaga ey’amaanyi mu kiseera ekya ssaddaaka ey’akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo bwe nali nga nkyasaba, omusajja Gabulyeri gwe nnalaba mu ebyo bye nnayolesebwa olubereberye, n'abuusibwa mangu, n'antuukako, mu kiseera eky'okuweerayo ssaddaaka ey'akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nali nga nkyasaba, Gabulyeli gwe nalaba mu kulabikirwa okwasooka, n'abuusibwa mangu n'antuukako, mu kiseera eky'okuweerayo ekitambiro eky'akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
weewaawo, bwe nnali njogera mu kusaba, omusajja Gabulyeri, gwe nnalaba mu ebyo bye nnayolesebwa olubereberye, n'abuusibwa mangu, n'ankomako nga mu kiseera ekya ssaddaaka ey'akawungeezi.