Daniel 9:23 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangu nga waakatandika okusaba, okwegayirira kwo kwaddibwamu era nzize okukutegeeza, kubanga oli mwagalwa nnyo. Noolwekyo ssaayo omwoyo eri ekigambo kino, otegeere bye wayolesebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe wasooka okwegayirira, ekiragiro ne kifuluma, nange nzize okukubuulira: kubanga oli mwagalwa nnyo: kale ssaayo omwoyo nga nkunnyonnyola, otegeere bye wayolesebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe wali waakatandika okwegayirira, n'oyanukulwa. Kaakano nzize okukumanyisa kye wayanukulwa, kubanga oli mwagalwa nnyo. Kale ssaayo omwoyo nga nkunnyonnyola, otegeere amakulu g'ebyo bye walaba mu kulabikirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe wasooka okwegayirira, ekiragiro ne kifuluma, nange nzize okukubuulira: kubanga oli mwagalwa nnyo: kale lowooza ekigambo ekyo, otegeere bye wayolesebwa.