Daniel 9:25 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Manya era tegeera ng’okuva ne kaakano ekiragiro nga bwe kiweereddwa ku kuzzibwawo kwa Yerusaalemi n’okutuusa ku kujja okw’omufuzi oyo eyafukibwako amafuta, waliba ebbanga lya wiiki musanvu. N’oluvannyuma kirizimbibwa mu wiiki nkaaga mu bbiri ne kiteekebwamu enguudo n’olusalosalo, newaakubadde nga biriba biro bya kutegana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale manya otegeerere ddala nga kasookedde ekiragiro kifuluma okuzzaawo n'okuzimba Yerusaalemi obuggya, okutuuka ku kujja kw'oyo afukibwako amafuta, omulangira, walibaawo Ssabbiiti musanvu: era walibaawo Ssabbiiti nkaaga mu bbiri (62), ne kizimbibwa nate, n'enguudo zaakyo era n'ebigo byakyo ebigumu, naye ebyo birikolebwa mu kiseera eky'okubonaabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale manya era otegeere ng'okuva ku kiseera ekiragiro lwe kiriweebwa okuzimba Yerusaalemu obuggya, okutuuka ku kujja kw'oyo omulangira alifukibwako omuzigo, waliyitawo wiiki musanvu, ne wiiki nkaaga mu bbiri. Yerusaalemu kirizimbibwa buggya, n'enguudo zaakyo era n'ebigo byakyo ebigumu, naye ekyo kiriba kiseera kya kubonaabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale manya otegeerere ddala nga kasooka ekiragiro kifuluma okuzzaawo n'okuzimba Yerusaalemi okutuusa ku oyo afukibwako amafuta, omulangira, walibaawo sabbiiti musanvu: era walibaawo sabbiiti nkaaga mu bbiri, n'ekizimbibwa nate, n'oluguudo n'olusalosalo, newakubadde mu biro eby'okutegana.