Daniel 9:26 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma lwa wiiki enkaaga mu ebbiri, eyafukibwako amafuta alisalibwako, era taliba na kintu. Abantu ab’omufuzi balijja ne bazikiriza ekibuga n’awatukuvu, n’enkomerero ye erijja ng’amataba, n’entalo era n’okuzika okwalagirwa biryeyongera okutuusa ku nkomerero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Ssabbiiti nkaaga mu bbiri (62) bwe ziriggwaako, oyo eyafukibwako amafuta n'alyoka azikirizibwa, so taliba na kintu: n'abantu ab'omulangira alijja balizikiriza ekibuga n'awatukuvu. Enkomerero ye erijja ng'amataba, n'okutuusa enkomerero walibaawo entalo: okuzikiriza kwalagirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wiiki enkaaga mu ebbiri bwe ziriggwaako, Eyafukibwako Omuzigo n'alyoka attibwa nga talina musango. Ekibuga n'Ekifo Ekitukuvu, birizikirizibwa eggye ly'omufuzi ow'amaanyi, eririjja ne lirumba. Enkomerero y'omufuzi oyo, erijja ng'omujjuzo gw'amazzi bwe gujja, era walibaawo okulwanagana, okutuusiza ddala ku nkomerero. Okuzikiriza kwalagirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era sabbiiti nkaaga mu bbiri bwe ziriggwa, oyo afukibbwako amafuta n'alyoka azikirizibwa, so taliba na kintu: n'abantu ab'omulangira alijja balizikiriza ekibuga n'awatukuvu: n'enkomerero ye eriba n'amataba, n'okutuusa enkomerero walibaawo entalo: okuzisa kwalagirwa.