Daniel 9:27 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alikola endagaano enywevu n’abantu bangi okumala wiiki emu, naye wakati wa wiiki eyo aliggyawo emikolo gya ssaddaaka n’ebiweebwayo. Ne ku kiwaawaatiro eky’ebyemizizo kulijjirako oyo aleeta okubonaabona, okutuusa ekiseera eky’enkomerero ekyalagirwa nga kituukiridde ku ye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omulangira alikola endagaano ennywevu n'abantu bangi okumala Ssabbiiti emu: mu makkati ga Ssabbiiti aliwera ssaddaaka n'ebiweebwayo. Ne ku ntikko y'Ekifo Ekitukuvu, alissaako eby'emizizo, okutuusa enkomerero eyamutegekerwa lw'erimutuukako.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omufuzi oyo alikola n'abantu bangi endagaano ennywevu okumala wiiki emu. Mu makkati ga wiiki eyo, aliwera ebitambiro n'ebiweebwayo. Ne ku ntikko y'Ekifo Ekitukuvu, omuzikiriza alissaako ebyenyinyalwa, okutuusa enkomerero eyamutegekerwa lw'erituuka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era aliragaana endagaano ennywevu n'abangi okumala ssabbiiti emu: ne mu kitundu ekya ssabbiiti alikomya ssaddaaka n'ekitone: ne ku kiwaawaatiro eky'eby'emizizo kulijjirako oyo alizisa: n'okutuusa byonna okutuukirizibwa, okwo kwe kwalagirwa, obusungu bulifukibwa ku oyo azisa.