Daniel 9:3 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne nkyukira Mukama Katonda ne nnoonya okubeerwa okuva gyali nga nsaba era nga neegayirira, nga nsiiba era nga nyambadde ebibukutu nga neesiize evvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nkyukira Mukama Katonda, okumunoonya nga nsaba, nga mwegayirira, wamu n'okusiiba nga nnyambadde ebibukutu era nga ntudde mu vvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne nkyukira eri Mukama Katonda, ne mmusaba nga mmwegayirira, nga nsiiba, nga nnyambala ebikutiya, era nga ntuula mu vvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne nteeka amaaso gange eri Mukama Katonda, okunoonya nga nsaba era nga nneegayirira, nga nsiiba enjala era nga nnyambala ebibukutu n'evvu.