Daniel 9:4 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nsaba Mukama Katonda wange ne mwatulira nti, “Ayi Mukama omukulu era ow’entiisa, akuuma endagaano ye so n’okwagala kwo tekujjulukuka eri abo bonna abakwagala era abagondera ebiragiro byo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne nsaba Mukama Katonda wange, ne njatula nti, “Ai Mukama, Katonda omukulu era ow'entiisa, akuuma endagaano gy'oba okoze, era n'osaasira abo abakwagala era abakwata amateeka go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne neegayirira Mukama Katonda wange, ne njatula nti: “Ayi Mukama Katonda, Ggwe Omukulu era ow'entiisa, Ggwe akuuma endagaano gy'oba okoze, era n'okwatirwa ekisa abo abakwagala ne bakola by'olagira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne nsaba Mukama Katonda wange, ne njatula, ne njogera nti Ai Mukama Katonda omukulu era ow'entiisa, atuukiriza endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne bakwata amateeka ge: