Daniel 9:7 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ Mukama oli mutukuvu, naye olunaku lwa leero tuswadde, abantu ba Yuda, n’abatuuze ba Yerusaalemi, ne Isirayiri yenna, abali okumpi n’abali ewala mu nsi zonna gye wabawaŋŋangusiriza olw’obutaba beesigwa gy’oli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ai Mukama, Ggwe oli mutuukirivu, naye ffe bulijjo twereetera okuswala, nga kwe tulimu kaakano. Ekyo bwe kiri eri ffenna: abantu ab'omu Yuda, n'abatuula mu Yerusaalemi, ne Isiraeri yenna, abali okumpi, n'abo abali ewala, mu nsi zonna gye wabagobera, olw'okwonoona kwe baayonoona ggwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe, ayi Mukama, bulijjo okola bituufu, naye ffe bulijjo twereetera okuswala, nga kwe tulimu kaakano. Ekyo bwe kiri ku ffe ffenna: abantu abali mu Buyudaaya, n'abatuuze b'omu Yerusaalemu, n'Abayisirayeli bonna abali okumpi, n'abo abali ewala mu nsi zonna gye wabasaasaanya olw'obutaba beesigwa gy'oli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, obutuukirivu bwe bubwo, naye ffe amaaso okukwatibwa ensonyi kwe kwaffe, nga leero: abantu ab'omu Yuda, n'abatuula mu Yerusaalemi, ne Isiraeri yenna, abali okumpi, n'abo abali ewala, mu nsi zonna gye wabagobera, olw'okwonoona kwe baayonoona ggwe.