Deuteronomy 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wa bajjajjammwe abawe mwale, muwere nkumi na nkumi, abawe omukisa nga bwe yabagamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nsaba Mukama Katonda wa bajjajjammwe abongereko obungi emirundi lukumi okusinga nga bwe muli leero, era abawenga omukisa nga bwe yabasuubiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, abaaze emirundi lukumi (1,000) okusinga nga bwe muli kati, era abawe omukisa, nga bwe yabasuubiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda wa bajjajjammwe ayongere okubafuula abangi okusingawo emirundi lukumi, era abawe omukisa nga bwe yabasuubiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama, Katonda wa bajjajja bammwe, abongere emirundi lukumi okusinga nga bwe muli, era abawe omukisa, nga bwe yabasuubiza!