Deuteronomy 1:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne nzigya mu bika byammwe abasajja abagezi, abamanyirivu, ne mbassaawo ng'abakulu bammwe, babe abagabe b'enkumi n'ebikumi, ataano n'amakumi, babe abakulu mu bika byammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe ntyo ne nzirira abakulu b’ebika byammwe, nga basajja ba magezi, abalina obumanyirivu, era abassibwamu ekitiibwa, ne mbalonda okubeeranga abakulembeze bammwe; okubanga abafuzi b’enkumi, n’abalala ab’ebikumi, n’abalala ab’amakumi ataano, n’abalala ab’ekkumi, mu bika byammwe byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ne nzirira abakulembeze abagezi era abamalirivu, ne mbafuula abakulembeze ab'enkumi, n'ebikumi, n'abataano, n'ab'amakumi, era n'abamyuka, ng'ebika byammwe bwe biri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ne nzirira abakulembeze abagezi era abamanyifu be mwalonda mu bika byammwe, ne mbafuula abakulu bammwe, abakulira abantu olukumi lukumi, n'ebikumi bikumi, n'amakumi ataano ataano, n'ekkumi kkumi. Ne nteekawo n'abakulembeze abalala mu bika byammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ne ntwala abakulu b'ebika byammwe, abasajja ab'amagezi, era ab'amaanyi, ne mbafuula abakulu bammwe, abaami b'enkumi, era abaami b'ebikumi, era abaami b'ataano, era abaami b'amakumi, era abamyuka, ng'ebika byammwe bwe biri.