Deuteronomy 1:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo nalagira abalamuzi bammwe nti: ‘Muwulire ensonga za baganda bammwe, mubalamule mu bwenkanya, ensonga ne bwe ziba wakati w'abooluganda, oba owooluganda n'omugwira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo ne nkuutira abaabalamulanga nti, ‘Muwulirizenga ensonga ezinaabaleeterwanga abooluganda, era musalengawo mu bwenkanya wakati w’owooluganda ne munne, era ne wakati we ne munnaggwanga gw’abeera naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era n'akuutira abalamuzi bammwe mu biro ebyo, nga njogera nti, ‘Muwulirizenga ensonga, musalenga mu bwenkanya emisango egy'abantu b'eggwanga lyonna, era n'egyo egya bannamawanga ababeera mu mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era mu kiseera ekyo, ne nkuutira abalamuzi bammwe nti: ‘Muwulirizenga ensonga za baganda bammwe, musalenga mu bwenkanya emisango egy'abantu b'eggwanga lyammwe, era n'egyo egizingiramu abagwira ababeera mu mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nnakuutira abalamuzi bammwe mu biro ebyo, nga njogera nti Muwulirenga ensonga za baganda bammwe, musalirenga emisango egy'ensonga omuntu ne muganda we ne munnaggwanga ali awamu naye.