Deuteronomy 1:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temwekubiiranga nga mulamula; omutene mumuwulirizanga kye kimu n'omunene. Temutyanga muntu n'omu, kubanga alamula ye Katonda. Ensonga ebazibuwalidde, mugindeeteranga, ŋŋenda kugiwulira.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musalenga emisango awatali kyekubiira; abagagga n’abaavu nga mubawuliriza kyenkanyi. Endabika y’omuntu tebatiisanga, kubanga Katonda y’asala emisango gyonna. Bwe wabangawo omusango gwonna omukakanyavu muguleetanga gye ndi, nze nnaaguwuliranga.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe munaasalanga emisango, temusalirizanga, munaawuliranga abato n'abakulu kyenkanyi; temutyanga maaso ga muntu, kubanga omusango gwa Katonda; era ensonga eneebalemanga mugireetenga gye ndi, nange nnaagiwuliranga.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temubeeranga na kyekubiira mu nsala yammwe. Muwulirizenga kyenkanyi abato n'abakulu. Temubangako muntu n'omu gwe mutiisa maaso, kubanga emisango mugisala mu buyinza bwa Katonda. Era ensonga eneebanga ebalemye, mugireetanga gye ndi, ne ngiwulira.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temusalirizanga bwe munaasalanga emisango; munaawuliranga abato n'abakulu okubenkanyankanya; temutyanga maaso ga muntu; kubanga omusango gwa Katonda: era ensonga eneebalemanga mugireetanga gye ndi, nange naagiwuliranga.