Deuteronomy 1:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nga Omukama bwe yali atulagidde, twava ku Korebu ne tukutula mu ddungu eryo lyonna eddene ate ery'entiisa lye mwalaba, ne tuyita mu kkubo ly'omu nsozi mu nsi y'Abaamori, ne tutuuka e Kadesi-Baruneya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne tusitula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu eddene ery’entiisa mwenna lye mwalaba, ne tukwata ekkubo eryatutwala mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tulyoka tutuuka e Kadesubanea.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo ne tutambula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu liri lyonna eddene ery'entiisa lye mwalaba, mu kkubo eriyita mu nsi ey'ensozi ey'Abamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tutuuka e Kadesubanea.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Twakola nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira, ne tuva ku Horebu, ne tutambula okuyita mu ddungu eryo lyonna eddene era ery'entiisa lye mwalaba, nga tukutte ekkubo eriyita mu nsi ey'ensozi ey'Abaamori, ne tutuuka e Kadesi Baruneya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne tutambula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu liri lyonna eddene ery'entiisa lye mwalaba mu kkubo eriyita mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tutuuka e Kadesubanea.