Deuteronomy 1:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati ensi yiiyo Omukama Katonda wo gy'akuwadde; yambuka, ogitwale ng'Omukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba. Totya, totekemuka.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, Mukama Katonda wo akuwadde ensi. Kale, yambuka ogyetwalire nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba. Totya, so toggwaamu maanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, Mukama Katonda wo atadde ensi mu maaso go; yambuka ogitwale ogituulemu nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba; totya so tokankana.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo ye nsi Mukama Katonda wammwe gy'abalaze. Mwambuke, mugyefuge, nga Mukama Katonda wa bajjajjammwe bwe yabagamba. Temutya era temutekemuka’.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, Mukama Katonda wo attadde ensi mu maaso go: yambuka olye nga Mukama Katonda wa bajjajja bo bwe yakugamba; totya so tokankana.