Deuteronomy 1:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe mwenna mwansemberera ne muŋŋamba nti: ‘Tutume abasajja basookeyo gye tugenda, bekkaanye ensi, bajje batubuulire entambula bw'eneeba, batubuulire n'ebifa ku bibuga gye tugenda.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mwenna ne mujja gye ndi, ne muŋŋamba nti, “Kirungi tutume abantu basooke okutuukako eyo gye tulaga, bakebere ensi bagyetegereze nga bw’eri; balyoke bakomewo batutegeeze ekkubo lye tusaanira okukwata, n’ebibuga bye tunaggukako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mwenna ne mujja gye ndi ne mwogera nti, ‘Tusooke tutumeyo abantu batukettere ensi eyo, bakomewo batubuulire ekkubo lye tunaayitamu, era n'ebibuga bye tunaasangayo nga bwe biri.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mwenna ne mujja gye ndi ne muŋŋamba nti: ‘Tusooke tutumeyo abantu batukettere ensi eyo, bakomewo batubuulire ekkubo lye tunaayitamu, era n'ebibuga bye tunaasangayo bwe biri.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne musemberera buli muntu ku mmwe, ne mwogera nti Tutume abantu abanatukulembera, batume abantu abaatukulembera, batukulemberere ensi, bakomewo batubuulire ekkubo bwe liri lye tuba twambukiramu, n’ebibuga bwe biri mwe tulituuka.