Deuteronomy 1:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baddira ku bibala byayo ne babikkiriza gye twali, ne bagamba nti: ‘Ensi Omukama Katonda waffe gy'agenda okutuwa nnungi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne banoga ku bibala eby’omu nsi omwo ne babituleetera; ne batutegeeza bwe bati nti, “Ensi Mukama Katonda waffe gy’atuwadde nnungi nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne banogayo ku bibala, ne babituleetera. Ne batubuulira nti, ‘Ensi Mukama Katonda waffe gy'atuwa, nnungi.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne banogayo ku bibala, ne babireeta gye tuli. Ne batubuulira nti: ‘Ensi Mukama Katonda waffe gy'atuwa, nnungi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batwala ku bibala by'ensi mu ngalo zaabwe, ne babireeta gye tuli, ne batubuulira ne boogera nti Ensi eyo nnungi Mukama Katonda waffe gy'atuwa.