Deuteronomy 1:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era ne mu ddungu naawe wennyini walaba Omukama Katonda wo bwe yakuyisa mu ddungu, ng'akusitudde ng'omuzadde omusajja bw'asitula omwana we, eyo yonna mu kkubo gye wayita, okutuusa lwe muzze mu kifo kino.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne mu ddungu walabira ddala nga Mukama Katonda wo bwe yakusitula, nga kitaawe w’omwana bw’asitula mutabani we, n’akuyisa mu lugendo lwonna n’okukutuusa n’akutuusa mu kifo kino.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ne mu ddungu mwalaba Mukama Katonda wammwe bwe yabasitula, ng'omusajja bw'asitula omwana we, mu kkubo lyonna lye mwayitamu, okutuusa lwe yabatuusa mu kifo kino.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne mu ddungu. Mu lugendo lwonna lwe mwatambula nga muli eyo mu ddungu okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino, mwalaba Mukama Katonda wammwe bwe yabasitula, ng'omuntu bw'asitula omwana we.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mu ddungu, mwe walabira Mukama Katonda wo bwe yakusitula ng'omusajja bw'asitula omwana we, mu kkubo lyonna lye mwayitamu, okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino.