Deuteronomy 1:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eyabakulembera mu ŋŋendo zammwe, ekiro mu muliro, emisana mu mpagi ey'ekire, ng'abanoonyeza ebifo aw'okusiisira n'okubalagirira ekkubo lye munaakwata.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
songa ye, yabakulemberanga mu lugendo lwammwe lwonna, n’empagi ey’omuliro ekiro, n’ekire mu budde obw’emisana, n’okubalaganga ekifo we munaasiisiranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eyabakulemberanga okubanoonyeza ekifo eky'okusiisiramu. Yasinziiranga mu mpagi ey'omuliro ekiro, ne mu mpagi ey'ekire emisana, okubalaga ekkubo lye munaayitamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
eyabakulemberangamu okubanoonyeza ekifo eky'okusimbamu eweema zammwe. Yasinziiranga mu mpagi ey'omuliro ekiro, ne mu mpagi ey'ekire emisana, okubalaga ekkubo lye munaayitamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyabakulemberanga mu kkubo, okubanoonyezanga ekifo eky'okukubiramu eweema zammwe, ng'ayima mu muliro ekiro, okubalaganga ekkubo lye munaayitamu, ne mu kire emisana.