Deuteronomy 1:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okuggyako Kalebu mutabani wa Yefunne. Oyo y'aligiraba; ye ndimuwa ensi gy'alinnyeeko ekigere kye, ndigiwa n'abaana be, kubanga yagoberera Omukama n'omutima gwe gwonna.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune. Ye agenda kugiraba, era ndimugabira, awamu n’ezzadde lye, ensi gye yalinnyako ekigere kye; kubanga yagondera Mukama n’omutima gwe gwonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ndi muyingiza mu nsi gye yaketta, ye n'abaana be, kubanga yeesiga Mukama mu byonna.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okuggyako Kalebu mutabani wa Yefunne. Oyo ye aligiraba. Era ye n'abaana be ndibawa ensi gye yalambula, kubanga yannywererako mu byonna.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
wabula Kalebu omwana wa Yefune, oyo y'aligiraba; era oyo ndimuwa ensi gye yalinnyako n'abaana be: kubanga yagoberera Mukama mu byonna: