Deuteronomy 1:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yoswa omuweereza wo, y'aliyingirayo. Oyo mugumye, kubanga y'alikulembera Yisirayeli okugyetwalira ng'obusika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula omuweereza wo Yoswa mutabani wa Nuuni ye aligiyingiramu. Mumuwagire, kubanga ye alikulembera abaana ba Isirayiri ne basikira ensi eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wo oyo ye aligiyingiramu; mugumye omwoyo; kubanga ye yaligigabira abaana ba Isiraeri.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuweereza wo Yoswa, mutabani wa Nuuni, ye aligiyingiramu. Mugumye omwoyo, kubanga ye alituusa Abayisirayeli mu nsi eyo ne bagyefuga.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa omwana wa Nuni, ayimirira mu maaso go, oyo aliyingira omwo: mugumye omwoyo; kubanga ye aligisisa Isiraeri.