Deuteronomy 1:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaana bammwe abato be mugambye nti ba kutwalibwa nga basibe, amabujje kati agataawula kirungi ku kibi, abo be baliyingira ensi ne bagitwala;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana bammwe abato be mwatiisanga nti bagenda kuwambibwa batwalibwe mu busibe, abaana bammwe abo, abaali batannayawulamu kirungi na kibi, be baliyingira mu nsi eyo. Ndigibawa, ne bagyetwalira ne bagyefunira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era abaana bammwe abo, abatannayawula kirungi na kibi, be mwagamba nti, ‘Balinyagibwa,’ be baliyingira mu nsi eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era abaana bammwe abo, be mwagamba nti: ‘Balinyagibwa, n'abaana bammwe abatannayawula kirungi na kibi, be baliyingira mu nsi eyo. Ndigibawa bo, ne bagyefuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'abaana bammwe abato, be mwayogera nga bagenda okuba omwandu, n'abaana bammwe, abatamanyi leero birungi newakubadde ebibi, bo baliyingira omwo, era ndigibawa bo, era baligirya.