Deuteronomy 1:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwayanukula nti: ‘Twonoonye ew'Omukama; tujja kwambuka, tulwane, ng'Omukama Katonda waffe bw'atulagidde.’ Buli omu yeesiba ebyokulwanyisa bye nga mulowooza nti kyangu okwambuka mu nsozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mulyoka munziramu nti, “Twonoonye eri Mukama. Tujja kwambuka tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.” Awo buli musajja ne yeesiba ebyokulwanyisa bye eby’olutalo, nga mulowooza nti kyangu okwambuka mu nsi ey’ensozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye ne muddamu ne muŋŋamba nti, ‘Tusobezza Mukama; ka twambuke tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.’ Buli muntu n'akwata eby'okulwanyisa bye, ne mwambuka nga mulowooza nti kyangu okulwanira mu nsi ey'ensozi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ne munziramu nti: ‘Twakola ekibi ne tunyiiza Mukama. Naye kaakano ka tugende, tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.’ Buli omu ku mmwe n'ayambalira ebyokulwanyisa bye, nga mulowooza nti kyangu okulumba ensi ey'ensozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mulyoka muddamu ne muŋŋamba nti Tusobezza ku Mukama; tunaayambuka ne tulwana, nga byonna bwe biri Mukama Katonda waffe bye yatulagira. Ne mwesiba buli muntu ebibye eby'okulwanyisa, ne mwanguwa okulinnya ku lusozi.