Deuteronomy 1:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'aŋŋamba nti: ‘Bagambe nti: “Temwambuka kugenda kulwana, kubanga sijja kugenda nammwe; abalabe bammwe bajja kubakubirayo” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’aŋŋamba nti, “Bategeeze nti, ‘Temwambuka kulwana, kubanga sijja kubeera nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Bagambe nti temugenda so temulwana, kubanga Nze siri wamu nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Bagambe nti tebagenda, era tebalwana, kubanga nze siri wamu nabo. Abalabe baabwe bajja kubawangula.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti Bagambe nti Temulinnya so temulwana; kubanga nze siri mu mmwe; muleme okugobebwa mu maaso g'abalabe bammwe: