Deuteronomy 1:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabalabula, naye mmwe temwawuliriza, mwajeemera ekiragiro ky'Omukama. Mwetumiikiriza ne mwambuka mu nsozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ntyo ne mbagamba, naye ne mutawuliriza, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama, ne mujjula amalala ne mwambuka mu nsi ey’ensozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne njogera nammwe, naye ne mutawulira; nga mujjudde amalala, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama ne mwambuka ku lusozi mulwane.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mbabuulira, naye ne mutawuliriza, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama, ne mwekuluntaza, ne mugenda mu nsi ey'ensozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne njogera nammwe, ne mutawulira; naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama ne mukwatibwa amalala, ne mulinnya ku lusozi.