Deuteronomy 1:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaamori abaasulanga mu nsozi ezo baavaayo ne babalumba, ne babagoba ng'enjuki bwe zikola, ne babakuba okubaggyira ddala e Seyiri okutuuka e Koruma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abamoli abaabeeranga mu nsi eyo ey’ensozi, ne bavaayo ne babalumba, ne babagoba ng’enjuki bwe zikola, ne babakubira mu Seyiri n’okubatuusiza ddala e Koluma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abamoli abaatuulanga ku lusozi olwo, ne bafuluma okubalumba nga bataamye ng'enjuki, ne babagoba ne babakuba okuva e Seyiri okutuusa e Koluma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abaamori abaali mu nsi eyo ey'ensozi, ne bavaayo okubalumba nga bataamye ng'enjuki. Ne babawondera okutuukira ddala e Haruma, ne babawangulira eyo mu nsi ey'ensozi ey'e Seyiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abamoli abaatuulanga ku lusozi olwo, ne bafuluma okubalumba ne babagoba, ng'enjuki bwe zikola, ne babakubirakubira ku Seyiri okutuusa ku Koluma.