Deuteronomy 1:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe mwakomawo ne mukaabira mu maaso g'Omukama; teyassa mwoyo ku kukaaba kwammwe, teyabawuliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mukomawo, ne mukaabira mu maaso ga Mukama, naye Mukama n’atabawuliriza era ne bye mwamukaabirira n’atabibawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mukomawo ne mukaabirira Mukama abayambe. Naye Mukama n'atabawuliriza era n'atabafaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mukomawo ne mukaabirira Mukama abayambe. Naye Mukama n'atabawuliriza era n'atabafaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne muddayo ne mukaaba amaziga mu maaso ga Mukama; naye Mukama n'atawulira ddoboozi lyammwe, so n'atabategera kutu.