Deuteronomy 10:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: ‘Situka, genda okulembere abantu bayingire batwale ensi gye nalayira okuwa bajjajjaabwe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’aŋŋamba nti, “Genda okulembere abantu, bakwate olugendo lwabwe, bayingire mu nsi gye nalayirira bajjajjaabwe okugibawa, bagyefunire.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Golokoka, okulembere abantu obayingize mu nsi gye nnalayirira bajjajjammwe okubawa.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'aŋŋamba nti: ‘Situka oyongere okutambula olugendo, okulembere abantu, bagende beefuge ensi gye nalayirira bajjajjaabwe okubawa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka, otambule ku lugendo lwo ng'okulembera abantu; era baliyingira balirya ensi gye nnalayirira bajjajja baabwe okubawa: