Deuteronomy 10:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno, Yisirayeli, Omukama Katonda wo akusaba ki? Si kirala, wabula okumutya oyo Omukama Katonda wo, okutambulira mu makubo ge gonna, okumwagala, okumuweereza oyo Omukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki Mukama Katonda wo ky’akwetaagako wabula okutya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagalanga, n’okuweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale kaakano, Isiraeri, Mukama Katonda wammwe byayagala mukole bye bino: Mutyenga Mukama Katonda wammwe, mutambulirenga mu biragiro bye byonna, mumwagalenga, era mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna, n'obulamu bwammwe bwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale kaakano Abayisirayeli, Mukama Katonda wammwe ky'abaagaza, kye kino: Mussengamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa. Mukwatenga empisa ennungi z'abalagira. Mumwagalenga era mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano, Isiraeri, Mukama Katonda wo akwagaza ki wabula okutyanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okumwagala, n’okuweereza Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna,