Deuteronomy 10:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omukama yasiima bajjajjaabo n'abaagala; mmwe bazzukulu baabwe n'abalonda, n'abasukkulumya amawanga gonna, nga bwe kiri kaakati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka era Mukama yakwana bajjajjaabo n’abaagala nnyo, ne yeerondera mmwe, bazzukulu baabwe, okubeera ku ntikko y’amawanga gonna nga bwe kiri leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yayagala bwagazi bajjajjammwe, era nammwe bazzukulu baabwe kwe kubalonda okubaggya mu mawanga amalala gonna, era abaagala n'okutuusa kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mukama yalumirwa nnyo bajjajjammwe, n'abaagala era n'okutuusa kati, kyeyava yeeroboza mmwe bazzukulu baabwe, mu b'amawanga amalala gonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama yasanyukira busanyukizi bajjajja be okubaagala, n'alonda ezzadde lyabwe eryaddawo, ye mmwe okusinga amawanga gonna, nga leero.